Amawulire

Bannayuganda bangi batulugunyizibwa mu kimugunyu

Ali Mivule

June 26th, 2017

No comments

Bya Sam Ssebuliba

Nga Uganda yegatta ku nsi yonna okukuza olunaku lw’okuvumirira okutulugunya  n’okuwagira abatulugunyiziddwa , amaloboozi g’okusomesa abakwasisa amateeka ne bannayuganda bonna ku by’okutulugunya gongedde okuyitamu.

 

Olunaku luno lukuzibwa buli nga  June 26 each okujjukiza ensi nti okutulugunya kikolwa kya kko.

 

Akulira emirimu mu kibiina ekibudabuda ababa batulugunyiziddwa ekya African Centre for treatment and rehabilitation of Torture victims Esther Nabwire  agamba oba oli awo okusomesa abantu kwandikendeeza ku batulugunyizibwa abeyongera buli lukya.