Amawulire

Bannayuganda basabiddwa okusiiba nga bakuuma obutinde bwensi.

Ivan Ssenabulya

February 14th, 2018

No comments

Bya samuel ssebuliba.

 

 

Banna- uganda basabidwa okuyingira  ekisiibo n’obumalirivu obw’okukuma obutonde bwensi.

Bwabadde ayogerera mukusaba okw’okusiiga vvu wali ku parliament amakya ga leero ssabalabirizi we kanisa ya uganda kitafe mu katonda Stanley Ntagali  agambye nti singa ekyamangu tekikolebwe, uganda eyolekedde okufuuka edungu lyenyini.

Ono nga tanayogera eyaliko minister w’ebyempisa James Nsaba Buturo yeyasoose okusaba banna- uganda ku mitendera gyonna okukiririza mubumu.

Ono agambye  nti banna- Uganda beetaga okubeera ebegendereza nga bagobeere endowooza ezimu ez’ebyobufuzi, songa mungeri yeemu asabye nababaka ba palament okubeera obumu beewale enjawukana.

Ewalala ewali okusaba okw’okusiiga vvu kuliko Christ the King, All Saints Cathedral Nakasero , Namirembe ,Rubaga newalala.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *