Amawulire

Buganda eyisizza embalirira yabuwumbi

Ali Mivule

May 29th, 2017

No comments

 

Bya Shamim Nateebwa

Gavumenti ya Buganda eyisizza embalirira ya buwumbi 28 nga essira lyakutumbula byabulimi.

Ensimbi ezisinga zisuubirwa kuva mu kitongole kya Buganda eky’ebyettaka ekya Buganda land board nga era wasuubirwa okuvaayo obuwumbi 15 sso nga bbwo obuwumbi 11 n’obukadde  300 zakuva mu satifikeeti.

Wabula mu mbalirira eno temuli nsimbi ziva mu zabupangisa naddala gavumenti byepangisa.