Amawulire

Dereva eyavuddeko akabenje k’eMasaka bamuwenja

Ali Mivule

June 26th, 2017

No comments

Bya Sam Ssebuliba

Poliisi mu bitundu bya Katonga ekyali ku muyiggo gwa dereeva eyavuddeko akabenje akafiiriddemu abantu 9 ku luguudo lwe Masaka olunaku lw’eggulo .

Aduumira poliisi y’ebidduka mu ggwanga  Dr Steven Kasiima agamba dereeva ono Moses Ssentongo y’avugisizza ekimama nga agezaaako okuyisiza mu kitundu ekikyamu.

 

Kasiima agamba okunonyereza kwebakoze kulagira ddala nti omugoba w’ekidduka ono yeyavuddeko akabenje wali e kalandazi kumpi ne tawuni ye Buwama omwafiiridde abaabadde mu mmotoka  ekika kya Prmio bonna n’abalala 3 abaabadde mu taxi.