Amawulire

Ebibuuzo 2,559 byebikwatiddwa

Ivan Ssenabulya

January 12th, 2018

No comments

Bya Ndaye Moses ne Ivan Ssenabulya

Ekitongolekyebigezo mu gwanga kikutte ebibuuzo byabayizi 2,559 lwakwenyigira mu kukoppa.

Ssabawandiisi wa UNEB, Dan Odongo ategezeza nti baganda kukola okunonyereza, nokubyekenneya oluvanyuma balangirira ekyenkomeredde.

Agamu ku masomero agakwatiddwa ebibuuzo byago kuliko Hope Lives Elementary P/S mu district ye Alebtong, Kigungumika P/S mu district ye Bukomansimbi, Kyengera Parents P/S Mugongo e Wakiso, Namasuba UMEA P/S, St Pius Masajja Primary Wakiso, St Thresa Mixed P/S ne New Hope kimbejja Junior ngagasinga gamu district ye Wakiso.

Ate e Mukono Sheets, Parents P/S ne Bumusuuta P/S gegamu ku bibuuzo byago ebikwatiddwa.

Ate mu masomero agayisizza abayizi obulungi gali wano mu Kampala ne distrct ezetoloddewo, kuliko Nsambya Hillside Nursery & Primary School, Nakirebe mu distulikiti y’e Mpigi.

Abazadde nabasomesa bakyagenda mu maaso nokujaganya oluvanyuma lwebibuuzo byekyomusanvu okufuluma olwaleero.

Amasomero getutuseeko e Mukono okuli Seeta Junior School Mbalala-Mukono, JIT Namawojolo trusanze abazadde bali mu ssanyu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *