Amawulire

Ebya Kayihura bibi, aba FDC nabo bwebamututte mu mbuga

Ivan Ssenabulya

November 14th, 2017

No comments

Bya Ruth Andera

Abekibiina kya FDC batutte ssabapolice Gen Kale Kaiyihura mu mbuga zamateeka, nga bamulumiriza okulagiranga police netataganya okulonda kwobwa president bwekibiina, nga bwekirabiddwako mu nkungaana ezenjawulo.

Bano bayise mu mubaka we Buhweju Francis Mwijukye, nga baagala kooti egaane ssabapolice obutadamu kugotaanya kakuyege wabwe akyagenda mu maaso kubanga FDC kibiina ekiriwo mu mateeka, okuvuganya gavumenti.

Mwijukye agamba nti kino akikoze ngakulira kakuyege womu ku bavuganya Patrick Amuriat, nga akimanyi nti ekibiina kyategeeza police ku nkungan zaabwe, kalenga kibaluma okulaba nga poliisi ebeefulira okutabangula enkungaana.

Yyo kooti tenasalawo lunaku kwegenda kutandika kuwulirirako musango guno.