Amawulire

Ebya’badde mu Lukungaana Lwa’babundabunda

Ivan Ssenabulya

June 24th, 2017

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Olukungaana olwobumu olwa Solidarity Summit on Refugees, olwatudde okusala entotto ku katayabaga kababundabunda  olubadde lubumbujjira wali e Munyonyo lwabuse akawungeezi akayise.

Ensimbi obukadde bwa dollar 352 nomusobyo zezasondeddwa ku buwumbi bwa dollar 2 ezetagibwa okuyamba ababundabunda, nga zigenda kukola ku nsonga zebyokulya ebyenjigiriza, ebyobulamu nebiralala okwetoola enkambi mu Uganda.

Mu kusooka ssabawandiisi wekibiina kyamawnga amagatte, Antonio Guterres yaguddewo olukungaana luno ku makya nakuba omulanga eri ensi yonna okuddukirira ababundanda era balage obuwagizi eri Uganda.

Wano yalabudde nti ssinga amawanga awamu mu nsi yonna tegaveeyo okuddukirira Uganda, kyandivaamu akatyabaga akanamaddala eri ensi.

Wano abakulembeze bamamwanga bakunganye okubaako engeri gyebakobanamu okusonda ensimbi okuyamba ababundabunda abeyiwa mu Uganda buli olukya.

Ate Presidenti Yoweri Museveni bweyabadde aggalawo olukungaana luno yebazizza bonna abawagidde, ate nasaba abeyamye okuyamba okutukiriza obweyamu bwabwe.

Omukulembeze we gwanga mu bubaka bwe yavumiridde ebikolwa ebivaako abantu okubundabunda, abamu nebafa naddala mu mawanga ga Africa amankuseere.

President Museveni yanokoddeyo ebikolwa ebyobutujju, enjawukana mu mawanga ekivaako entalo abantu nebasigala emombozze.

Wano, yagambye nti bino byebimu ku bisaanye okusimbibwako amannyo mu kulwanyisa entalo.

Mungeri yeemu, omubaka we gwanga lya America mu Uganda Deborah Malac yasabye abagabirizi bo’buyambi okuteeka ekinyiga ku njuuyi zombi mu nkayana ze gwanga lya South Sudan eziviriddeko abantu abawera okufa.

Malac yategezezza nti waddenga balubiridde okuyamba emponzi naye namagezi okufuna ekyenkomeredde ku lutalo lwa South Sudan okukakasa nti lukoma getagisa ate mungeri eyamangu.

Yavumiridde eryanyi erye mmundu nti teryetagisa, emirembe bwejinaaba gyakuddamu okubukala mu gwanga lino.