Amawulire

Eby’akayanja ka Kabaka biseetuse

Ali Mivule

March 27th, 2015

No comments

Boat race 2

Akakiiko akatekeebwawo okunonyereza ku ngeri y’okukulakulanyamu ennyanja ya Kabaka mu Ndeeba olunaku olwaleero kawaddeyo alipoota yaako eri Katikiro Charles Peter Mayiga .

Akikiiko kano akakulembeddwamu Dr Kenneth Ssemwogerere  kaweebwa emyezi mukaaga okufulumya alipoota eno.

Bw’abadde akwasibwa alipoota eno, Mayiga atendereza abakulu ku kakiiko kano okukola omulimu mu budde awatali kwekwasa nsonga yonna.

Mayiga era agambye nti abantu ba Ssabasajja balina okusitukiramu okutaasa enyanja ya Kabaka, okwonoonebwa naddala okuva eri abantu abagiriraanye.

Mayiga era agambye nti enyanja eno yakwongera okutumbula ebyobulambuzi mu ggwanga ssinga enakulakulanyizibwa okutuuka ku mutindo gw’ensi yonna.