Amawulire

Ekirwadde kya Sickle cells kyongedde okutta amabujje

Ali Mivule

June 19th, 2017

No comments

Bya Damali Mukhaye

Nga Uganda yegatta ku nsi yonna okukuza olunaku lw’ekirwadde kya Sickle cells, Minisitule y’ebyobulamu esabye bannayuganda bonna okwongera okutwala abaana baabwe abali wansi w’emyaka 2 okukeberebwa ekirwadde kino ki kattira.

Okusinziira ku muwandiisi wenkalakalira  Diana Atwiine  ebibalo biraga nti abaana  25,000  buli mwaka bazaalibwa n’obulwadde buno nga era ku bano 80% bafa tebanaweza myaka 5.

Dr Atwine agamba minisitule kati ebakanye ne kawefube w’okukebera amabujje gano naddala mu bitundu ekirwadde kino gyekiilisiza enkuuli.

Emikolo gy’olunaku luno gyakukwatibwa mu disitulikiti ye Kamuli nga era y’emu ku zi disitulikiti ezisingamu ekirwadde kino mu Uganda.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *