Amawulire

Enguzi mu Uganda ekyagaanye

Ivan Ssenabulya

February 22nd, 2018

No comments

Bya Moses Ndaye

Uganda eri mu kiffo kya 151 mu lusengeka lwamwanga agasingamu okulya enguzi, ku mawanga 180 agatunuliddwa.

Ssenkulu wekitongole kya Transparency International Uganda, abakoze okunonyereza Peter Wandera, agambye nti Uganda yasigadde mu kiffo kyekimu kyeyalimu mu lusengeka opkwalsemba.

Agambye nti mu mawanga gobuvanjuba bwa Africa, Rwanda yeyakoze obulungi mu kiffo kya 48, Tanzania mu 103, Kenya 143 ate Burundi mu kiffo kye 157.

 

mungeri yeemu Uganda ekwata ekiffo kyakubiri mu mawanga agasinga okubaamu, embalirira ye gwanga eyobweruffu tnga nabantu babulijjo baweebwa omukisa okuwa endowooza zaabwe ku lukalu lwa Africa.

Mu kunonyererza okwakoleddwa aba Debt Network–Uganda, okwomwaka 2017 Uganda yafunye obubonero 60% nekulembeddwa South Africa nobubonero 89%.

Akulira ebyemirimu mu kitongole kino, Imelda Namagga bwabadde afulumya alipoota eyavudde mu kunonyereza agambye nti obubonero buno era buteeka Uganda waggulu webibalo ebyawamu mu nsi yonna ku 42%.

Wabula Namagga agambye nti gavumenti etekeddwa okuteeka ensimbi mu bitongole ebirondoola esnsasanya yensimbi, nokulwanyisa iobuli bwenguzi.