Amawulire

Nambooze aleeta etteeka akakali ku Mwenge

Nambooze aleeta etteeka akakali ku Mwenge

Ali Mivule

May 4th, 2016

No comments

mwenge

File Photo: Abantu nga bamwa omwenge

Omubaka wa municipaali ye Mukono Betty Nambooze Bakireke ayagala kuleeta teeka nga likugira omuntu okumala gekatankira mwenge.

Mu tteeka lino  Omwenge gwakunyeebwa wakati we saawa 11 ez’olweggulo  ne ssaawa 6 nga bukya okuva ku Mande okutuuka ku lwokutaano wabula nga wiikendi omuntu waddembe okutobya ku mumiro nga bw’ayagala.

Mu tteeka lino era teri kuddamu kuguza mwenge eri Muntu aba yakongozze dda omumbejja namalwa kubanga kyongera ku bulabe.

Abayimbi nabo etteeka lino libakwatako nga Nambooze ayagala baleme kuddamu kuyimba buyimba bususuta nkangaali sso nga nga n’abalanga omwenge bakutekebwako ekkomo mu tteeka lino.

Kati Nambooze asabye ababaka mu palamenti eyekkumi okuwagira etteeka lino okukuuma omujiji omuto obutafuuka bakatamiira jjobyo nga n’abamu eby’okukola babyelabira olw’endeku.

Okusinziira ku kunonyereza okwakolebwa omukutu gwa CNN mu 2013, mu nsi yonna Uganda ekwata kifo kya 8 mu kunywa omwenge sso nga ku ssemazinga wa Africa teri agiwunyamu mu kuwunzika endeku.