Amawulire

Eyali Akulira UBC Asindikiddwa e Luzira

Ivan Ssenabulya

August 2nd, 2017

No comments

KAMPALA

Bya Ruth Anderah

Eyali akulira omukutu gwa gavumenti ogwa mawulire ogwa Uganda Broadcasting Co-operation Paul Kihika avunaniddwa kooti ewuliriza abalyake nabakenuzi era nasindikibwa ku alimanda e Luzira bweyganye emisango gyokubulankanya ensimbi za gavumenti ekyaletawo okufirizibwa.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Peter Mugisha lutegezezza nti wakati womwezi Ogwokutaano nogwomunaana mu mwaka gwa 2014, yakozesanga ekiffo ngakulira UBC nabulankanya dollar za America  9,510 nga bwebukadde bwa kuno 33 mu emitwalo 20.

Ensimbi zino zaali zimuwereddwa okugenda mu gwanga lya China ku mirimu emitongole, wabula teyalinyayo.

Kihika abadde mu maaso gomlamuzi we ddala erisooka Pemela Lamunu neyegaana emisango ejimusomeddwa.

Wabula ono abadde tasobola kusaba kweyimirirwa nga mpaawo ku boliganda lwe ababdde mu kooti, kwekusindikibwa mu kolokooni.

Kati ono asubirwa okuzbwa mu kooti ku Bblaza nga 7th asabe okweyimirirwa.