Amawulire

Eyali Minista webyobulambuzi Maria Mutagamba Afudde

Ivan Ssenabulya

June 25th, 2017

No comments

Bya Moses Kyeyune

Egwanga lyabutikidde ekyobeero akawungweezi akayise oluvanyuma lwamawulire gokufa kweyali minister webyobulamuzi Maria Mutagamba.

Mutagamba yafirdde mu ddwaliro lya Case Hospital mu Kampala akawungeezi akayise ku myaka 70.

Alipoota zabasawo entongole ku kyasse omugenzi tezinafuluma wabulanga kisubirwa, ono yafudde kirwadde kya kokolo owomubyenda.

Omugenzi alwanagey nekirwadde kino okuva mu mwaka gwa 2004, nga yadduisibwa mu ddwaliro wiiki 3 emabega oluvanyuma lwekimbe mu lubuto ekyamugwira.

Kati abenatu abenjawulo webukererdde nga bakungubagga.

Omugenzi Maria Mutagamba yasala okuva mu kibiina kya DP okwesogga NRM mu mwaka gwa 1996 oluvanyuma lwakulonda kwa bonna.

Nga tanaba kunnyuka byabufuzi mu mwaka gwa 2016, yawereza mu biffo byokulembeze ebyanjawulo.

Yaliko Minister wobutonde namazzi wakati womwaka gwa 2011 ne 2012.

Yaliko omubaka omukyala owa ditsirct ye Rakai okumala emyaka 15.

Ono abadde munnabyanfuna eyakuguka okuva mu ttenedekero e Makerere ngabdde mukyala wa Tarsis Mathew Mutagamba.