Amawulire

Eyali minister Abraham Byandaala ali mu kooti nate.

Ivan Ssenabulya

October 13th, 2017

No comments

Bya Ruth Anderah.

 

Kooti ewulira emisango egy’obulyake ekulirwa omulamuzi Lawrence Gidudu  leero lw’asubirwa okusalawo oba  eyali minister w’ebyengudo Abraham Byandala nabalala mukaaga benyingira mukunyaga ensimbi ezaal ez’okudabiriza oluguudo olwa  Mukono- Katosi road.

Kinajukirwa nti obujulizi obwaletebwa Kalisoliiso wa government Sarah Birungi  bwalaga nti bano bebaafiriiza government ensimbi obuwumbi 24.7 nga zino zezaali ez’okukola oluguudo luno.

Kinajukirwa nti Byandaala ono omusango guno agulimu n’abalala okuli kimeze Ssebbugga, Joe Ssemugooma, Wilberforce Senjako ne Marvin Baryaruha nga bano baali bakozi ba kitongole ky’ebyenguudo ekya UNRA, kko n’omusubuzi  Apollo Senkeeto  wamu n’omukozi wa Housing Finance Bank Isaac Mugote.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *