Amawulire
Eyayokya munne bamuwenja
Poliisi mu bitundu bye Kitintale etandise omuyiggo gwakali butemu Jenifer Nekese eyayiira muggya we amafuta n’amukoleeza
Omukyala ono etayokebwa yafa ssaabbiiti ewedde kyokka nga bassalumanya abalugenderamu bakyaali ddala bubi mu ddwaliro e Mulago.
Abaalumizibwa nga bonna bakyali mu kifo awatekebwa abayi kuliko Rahmah Birabwa,Eddie Musoke, ne Avarap Manyi Byaruhanga .
Bw’abadde agenzeeko ku ddwaliro e Mulago okulaba ku mbeera y’abantu bano, akulira okunonyereza ku misango ku poliisi ye Kitintale Godfrey Akagaba agambye nti baatandise dda okukozesa essimu ya Nekessa okusobola okumufuna era nga bwebanamukwata wakuvunaanibwa gwa butemu.
Kinajjukirwa Nekesa ku nkomerero ya sabbiiti ewedde yalumba omukyala gw’atebereza okumwagaalira omusajja Annet Nakimuli n’amuyiira amafuta era n’akuma n’omuliro ogwatwaliramu abantu abalala bana.