Amawulire

Gashumba azeemu navunanibwa

Ivan Ssenabulya

January 16th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah

Frank Gashumba ne Muganda we Innocent Kasumba olwaalero bavunaniddwa mu butongole mu kooti ya Buganda Road, oluvanyuma lwakediimo kabawaabi ba gavumenti, okuyimirizibwa omwaka oguweddes.

Bazeemu nebabasomera emisango egyobufere, okusangibwa nebiragalalagala mu maaso gomulamuzi James Eremye Mawanda, wabula nebagyegaana.

omuwaabi wa gavumenti Nelly Asiku ategezeza kooti nti mukama we Jonathan Muwaganya yamanyi obulungi emisango gyabavunanwa, nasaba gyongezebweyo.

Omusango gwakuddamu okuwulirwa nga February 19th wa 2018.

Gashumba ne Muganda we Kasumba bavunanibwa nomukozi mu kamupuni yebyobulambuzi eya MJ Safaris company Ismail Kiyingi, nga kigambibwa bafera omuzungu okwagala okumubba, bwebeyita abakungu mu ministry yebyobulambuzi.