Amawulire

Gavumenti ya Uganda eyanirizza aba M23

Ali Mivule

November 6th, 2013

No comments

M23

Amaggye  ga UPDF gaanirizza ekyasaliddwaawo abayekera ba Congo aba M23 okukomya okulwanagana n’amaggye g’eggwanga lya Congo.

Olunaku olw’eggulo abayekera aba M23 bategezezza nga bwe bagenda b=okuyita mkuteesa okutuukiriza ebiruubirirwa byaabwe

Omwogezi wa maggye ga Uganda, Paddy ankunda  agamba kino kyakuteekawo embeera y’enteseganya okukomya okulwanagana kuno.

Eggwanga lya Uganda lyeribade likubiriza enteseganya wakati w’abayeekera ba M23 ne gavumenti ya Congo ababadde balwanagana okumala emyezi egisoba mu 20, era nga abantu abasoba mu mitwalo 80 bbo beebadduka dda mu ggwanga lya Congo okwetegula ekibambulira.