Amawulire

Kabaka Ajjulidde ku Musango gwa Mabiriizi

Ivan Ssenabulya

June 21st, 2017

No comments

Bya Ruth Andera

Okuwulira omusango Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi 11 mwawakanyiriza ennnamula ya kooti enkulu eyamulagira okulaga ebiwandiiko nebikwata ku ttaka lye eri  Male Mabirizi Kiwanuka kugenda mu maaso mu kooti ejjulirwamu.

Omutanda akiriddwa munnamateeka Christopher Bwanika ngono ategezezza omulamuzi ali mu mitambo gyomusango guno, Patricia Wasswa Basaza nti ssi bamativu ne nnamula ya kooti enkulu gyeyawa nga 5th omwezi guno bwebalagira Ssabasajja okwanja ebikwata ku byenfuna bye oba Banka statements mu Stanbic ne Bank of Africa accounta eziri mu mannya gekitongole kyebye ttaka ekya Buganda Land Board ensimbi zonna eziva u ttaka lyobwakabwaka kwezikumirwa.

Kooti era yalagira byonna ebikwata ku basenze abali ku ttaka lya Beene biweebwe omuwaabi Male Mabirizi obutasukka ngennakuz zomwezi 30th omwezi guno okusobola okwekennenya obulungi enkola ya “Ekyapa mu ngalo” eyafuuka ensonga.

Kati Kabaka ayagala omulamuzi Basaza Wasswa okuyisa ekiragiro ekiwakanya ebyo byonna ebyasalibwawo.

Mu mpaaba ye Kabaka agamba kuno kunaaba kuyingirira bintu bye, bwnalaga byalina nebyenfuna ye.

Kabaka era wakanya ekya Mabirizi okumuwabira songa talina yadde ekiraga nti musenze ku ttaka lyayogerako.

Mabirizi awakanya ensimbi za busuulu endala ezizze zisabibwa abantu ba ssabasajja okuwandiisa ettaka lyabwe eziri wakati wemitwalo 10 ne 60.