Amawulire
Kabaka w’abasongora afudde
N’okutuusa kati abantu mu bukama bw’abasongola bakyakungubaga oluvanyuma lw’Omukulembeze waabwe ow’enono Rwidi Ivan Bwebale IV okufa.
Omugenzi y’afudde ekiro ssaawa ssatu n’ekitundu ku ddwaliro lya Kadic e Bukoto gyeyatwalibwa nga ali bubi.
Okusooka omugenzi y’atwalibwa mu ddwaliro e Nsambya gy’abadde okumala wiiki 3 okutuusa lweyatwaliddwa ku Kadic.
Omugenzi afiiridde ku myaka 72 nga era nga obukulembeze bwe bubaddemu enkaayana n’obusinga bwe Rwenzururu.
Omukama Bwebale yatuula ku namulondo nga 1 July 2012 wabula nga ab’e rwenzururu bawakanya obukulembeze buzo.
Twogeddeko ne minisita w’ensonga za ssemateeka mu Bukama bw’abasongola Daniel Kasagama natutegeeza nti okufa kw’omukulu ono ddibu lya maanyi eri abasongora bonna.