Amawulire

Kaihura Yegaanye Okuyimbula SOBI

Ivan Ssenabulya

January 17th, 2018

No comments

Bya Kyeyune Moses

Ssabapoliisi we gwanga Gen Kale Kayihura asabye abantu babulijjo, okwesammula ebyogerwa nga Paddy Sserunjogi bweyayimbuddwa.

Sserunjogi, amanyiddwa nga SOBI yakwatibwa ku Bbalaza, mu kikwekweto ekyawamu.

Bwabadde alabiseeko mu kakaiiko ka palamenti akebyokwerinda nesonga zomunda mu gwanga, omubaka we Butambala Muhammad Muwanga Kivumbi atadde Kayihura ku nninga okunyonyola kungeri omusajja ono, naye kennyini eyelangiridde nti mumenyi wamateeka gyeyayimbuddwamu.

Bino Kaihura abiwakanyizza.