Amawulire
Kampeyini ze Kyadondo zikoma leero
Bya Damali Mukhaye
Akakiiko k’ebyokulonda kategezezza nga bweketegekedde obulungi okuddamu okulonda kw’omubaka wa Kyadondo East.
Ekifo kino kyasigala kikalu oluvanyuma lwa kkooti ejulirwamu okukkanya ne kkooti enkulu nebagoba Apollo Kantinti mu palamenti nti yazimuula amateeka g’ebyokulonda.
Abesimbyewo 6 kati mwezi mulamba nga banoonya akalulu era akulira eby’okulonda e Wakiso Francis Nkurunziza atutegezezza nti kampeyini zikomekerezebwa leero ku ssaawa 12 ezakawungeezi olwo batandike okutwala ebikozesebwa mu kulonda mu bifo webalondera.
Nkurunziza agamba okulonda kutandika ssaawa 2 ezokumakya kukomekerezebwe ku ssaawa 10 ez’olweggulo ku lwokuna.
Abaagala ekifo kino kuliko eyagobwa Apollo Kantiti ow’ekibiina kya FDC ,munna NRM William Sitenda Ssebalu, omuyimbi Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi wine , Muwada Nkuyingi wamu ne Edward Kasasa.