Amawulire
Katikiro ayogedde ku kya NRM okulemererwa okuyitamu mu Buganda
Bya Prossy Kisakye,
Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, atangaziza ensonga lwaki ekibiina kya NRM kyamiddwa akalulu mu bitundu Buganda mu kulonda omukulembeze weggwanga nábabaka ba palamenti okwakagwa
Mu kwogerako ne bannamawulire e Lweza, amangu ddala nga yakamala okulonda, Mayiga anokodeyo ettemu, kiwamba bantu ebyakyaka enyo mu bitundu bya Buganda, obuli bwenguzi, ebisuubizo bya gavt ebitatukirira omuli okuwa Buganda Federo, okulongoosa ebyenjigiriza, ebyobulamu, okumalawo ebbula lye mirimu mu bavubuka nti bye bimu kubyalemeseza aba NRM okuyitamu
Ono agambye nti ekya gavt okwekwasa obusosoze mu mawanga ne ddiini si kituufu kuba ne mu Ankole abaayo balonda Museveni so si Kyagulanyi
Katikiro awadde banna NRM amagezi okutuula okulowooza enyo ku byabamisa akalulu ba birongose mu kifo kyo kwekwasa ebitalimu