Amawulire

Buganda erabudde ku kukukyusa mu ssemateeka

Ivan Ssenabulya

October 16th, 2017

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Obwakabaka bwa Buganda buvudeyo okulabula Parliament nga bwetwagwana  kupapa kukyusa mu ssemateeka wa uganda nga bajja ekomo ku myaka gyomukulemeneze we gwanga okujjako nga bamaze kwebuza kubanna- uganda.

Kuno  okulabulwa kukoleddwa Katikiro wa Buganda owek.Charles Peter Mayiga era munamateeka  omutendeke  bwabadde ayogerera mu lukiiko lwa Buganda olutudde amakya ga leero mu bulange mengo.

Ono agamba nti ssemateeka lyeteeka ekulu elya uganda yonna, kale  okwekiriranya nga likyusibwa tekigwana.