Amawulire

Kayisanyo mu Kampala -abagula ebya ssekukulu betala

Ali Mivule

December 24th, 2014

No comments

Kikuubo lane

Nga ebula ssaawa okutuuka ku kulisimansi, embeera ya kayisanyo mu kibuga wakati.
Amakubo agoolekera paaka empya n’enkadde gonna gakwatiridde namunji w’omuntu wakati mu kusitula emigugu n’okukwata abaana abato ku mikono nga boolekera emmotoka ezibatwala mu byalo.

Mu Katale ka Owino abantu abawerako balabiddwako nga bagula emmere okuli amatooke n’enyama nga era kanyigo kenyini mu katale kano.
Enkota y’amatooke egula wakati 25, 000 ne 35, 000 sso nga kilo y’enyama egula mutwalo.

Wabula yadde nga banji balabiddwako nga bagula ebintu bya sekukulu, abasuubuzi banji bagamba ebintu tebinatambula bulungi nga abaguzi batono n’okusinga ku bebaalina kulisimansi ewedde.

Mungeri yeemu bbo abatembeeyi bokunguudo nabo bamize ppini nebesogga ekibuga okunoonya ku ssente za ssekukulu yadde nga abakwasisa amateeka aba KCCA bawamba ebyamaguzi byabwe.

Bbyo ebisale by’entambula byeyongedde okwekanama nga era abamu ku basaabaze balabiddwako nga bakonkomaliridde mu paaka.
Ejinja kati atalina mutwalo totawaana kulinya mmotoka sso nga e Kamuli kati osasula wakati wa 20000 ne 25000.