Amawulire

Loodi meeya yejeeredde

Ali Mivule

February 13th, 2013

No comments

Lukwago happyLoodi meeya wa kampala, Erias Lukwago agyiddwaako emisango gy’okukuma mu bantu omuliro ku byokwekalakaasa kwa 2009.

Okwekalakaasa kuno kwaddirira gavumenti okugaana ssabassajja kabaka okugenda mu ssaza lye elye Kayunga

Omulamuzi Eliana Khainza agambye nti Lukwago emugyeeko emisnago oluvanyuma lw’oludda oluwaabi okulemererwa okuleeta yadde omujulizi omu okumulumiriza.

Omulamuzi agambye nti kino kiraga nti gavumenti ebadde tekyalina kigendererwa kyakugenda mu maaso ng’evunaana meeya.

Wabula yye Lukwago nti terunaggwa, agenda kuwawaabira gavumenti olw’okumumalira obudde

Okwekalakaasa okwafumbekera ebitundu bya Buganda kwafiiramu abantu 30.