Amawulire

Makerere etandika leero okutikira abaana abasoba mu 14,000.

Ivan Ssenabulya

January 16th, 2018

No comments

Bya Damali Mukhaye.

Olunaku olwaleero etendekero elya Makerere lweritandika okutikira abaana abasoba mu mitwalo 14,000 , nga gano gematikira ag’omulundi- 68th

Okutikira kuno  kugenda kumaala enaku 4, era kutandiise leero kuggwe ku lw’okutaano.

Amyuka akulira etendekro lino Prof Barnabus Nawangwe , agamba nti bano bebaana abakyasinze obungi okutikirwa mu byafaayo bya Makerere bukyanga etendikibwawo.

Abaana abagenda okusooka okutikirwa beebo abasoma eby’obulimi ,eby’enjigiriza, eby’obutonde bwensi , kko nabasomera ebweru we tendekero lino.

Mungeri yeemu etendekero lino era lisuubirwa okubaako ekitiibwa ekya Honorary Doctorate of Laws  kyebagenda okuwa eyali mukyala wa Nelson Mandela , nga ono ye Winne Mabdela.