Amawulire

Mu Kenya Embeera ya Bwerende, Ba Kalondoozi Bakirizza

Ivan Ssenabulya

August 10th, 2017

No comments

KENYA

Bya Sam Ssebuliba

Eyali Ssabawandiisi we gwanga lya America John Kerry, mutaka mu gwanga lya Kenya, ngono yoomu ku bakalondoozi bebyokulonda abali mu gwanga lino.

Ono yeyakulembeddemu ba kalondoozi bebyokulonda mu mukago gwa Carter.

Ono abadde ayogerako ne bannamwulire emisana ga leero, wabula asabye bonna abesimbyewo okuboberera amateeka.

Ate ba kalabalaba bebyokulonda abalala mu gwanga lya Kenya mu mukago gwa East Africa basabye akakiiko k’ebyokulonda mu gwanga lino okubaako byekakyusa, okusobola okutegekanga okulonda okwamazima n’obwenkanya.

Bwabadde ayogerako ne banamawulire amakya ga leero Prof Edward Rugumayo eyaliko speaker wa parliament ya Uganda agambye nti baakyerabideko ngebikozesebwa mu kulonda bituuka ngobudde bugenze, kale nga kino kigwana okukolako mu bwangu dala.

Ono mungeri yeemu agambye ngi enkalala z’abalonzi zigwana okutimbibwa mu budde, kisobozese okukendeeza ku muwendo gw’abantu abatuuka mu k’okulonda nga tebalaba manya gaabwe.

Ate bbo bakalabalaba mu omukago gwa Africa Union abakulembedwamu eyali president wa south Africa Thabo Mbeki bategezeza ngokulonda kuno bwekwatambudde obulungi, newankubadde waliwo ebitonotono ebirumira ebyalabiddwako.

Mbeki agambye nti newankubadde okulangirira okulonda tekunatuuka, bbo bamativu nebyakakoleddwa akakiiko k’ebyokulonda, nga basuubirwa nti bano bagoberedde buli mutendera egilambikibwa omukago gwa Afarica.

Byo ebivaayo biraga nti Uhuru Kenyatta akyalebya munne Raila Odinga ku bitundu 54.28% nobululu obukadde 8 nomusobyo nomusobyon newankubadde ebyavudde mu kulonda byonna, Odinga yabigaanye nti ebyuma bi kalimagezi byayingiriddwa neikwatawamu mu kkobaane okubba obululu.

Odinga alina ebitundu 44.83% nga bwebululu obukadde 6 nomusobyo.

Embeera ekyali ya bunkenke mu gwanga lya Kenya, abamu ku bawagizi ba Oduinga bwebatanudde okwekalakaasa nga bawakanay ebyakasomomwako.

Poliisi olunnaku olwe ggulo, yabulonze nabawagizi mu bitundu nga Kisumu ne Kisa gabantu 3 bebaluguzeemu obulamu.