Amawulire

Mufti asattizza Masaka

Ali Mivule

March 4th, 2015

No comments

Mubajje

E Masaka, bunkenke ng’abaayo betegekera okukyala kwa Mufti wa Uganda Sheikh Shaban Ramathan Mubajje

Mufti wakulemberamu okusaala Juma ku muzikiti omukulu ng’akabonero akalaga obumu.

Wabula abakulembeze b’abasiraamu baweze nga bwebatajja kwetaba mu kusaala kuno kubanga kandiba akakodyo okubanyakulako omuzikiti gwaabwe

Disitulikiti Khadi we Masaka Sheik Swaibu Ndugga agambye nti era kyannaku okuba nti Mubajje agenda kukyaala waabwe naye nga teyabawandiikidde yadde okubakubira ku ssimu

Ne RDC we Masaka Linos Ngompek agamba nti bamaze okusaba mubajje obutagenda ku muzikiti guno kubanga wakuleeta ntalo