Amawulire

Mugende babakebere omusaayi-Museveni

Ali Mivule

November 8th, 2013

No comments

m7 yekebezza

Pulezidenti Museveni akubirizza bannayuganda okwekebeza okumanya webayimiridde mu nsonga za mukenenya

Kino pulezidenti agamba nti kyakuyamba okutegeera abalwadde era batandisibwe ku ddagala nga bukyaali.

Ono agamba nti endwadde ya mukenenya ekyaalian akakwate ku ku nneyisa y’omuntu ng’engeri endala omuyita obulwadde buno ng’empiso, omusaayi kko n’obuva ku ba maama nga budda ku baana zzo bazinogedde eddagala

Olwaleero pulezidenti Museveni yekebezza omusaayi mu lujjudde okusindika obubaka eri abantu abalala okwekebeza

Ono abadde ku ddwaliro lya Kiswa  era atongozezza eky’abafumbo okwekebeza mukenya nga bali wamu.

Okusinziira ku kakiiko akakola ku bya mukenenya , abantu akakadde kamu n’ekitundu beebalina akawuka ka siriimu.