Amawulire

Munnamwulire Muyanga Lutaaya abanjibwa obukadde 290

Ivan Ssenabulya

January 15th, 2018

No comments

Bya Sam Ssebuliba

Kooti enkulu e Jinja munamawulire, eyavuganya ku kiffo kyomubaka wa palamenti owe ssaza lye Bulamogi, Simon Muyanga Lutaaya okweyanjula ku Lwokusattu lwa wiiki eno nga 17th oluvanyuma lwokulemererwa okusasula ensimbi obukadde 290 eri eyamuwangula omusango Keneth Lubogo.

Ebiwandiiko ebiyitra Muyanga Lutaaya, biyisiddwa omumyuka womuwandiisi wa kooti enkulu e Jinja, Jesse Byaruhanga.

Muyanga Lutaaya akati alina essaawa 48 zokka okusasula ku mabanja gano wakiri obukadde 50.

Wabula Muyanga Lutaaya atubuliidde nti ensimbi ezamusabibwa zayitirira obungi, ngalemereddwa okuzifuna.