Amawulire

Munyagwa apondoose nebamuyimbula

Ali Mivule

April 24th, 2017

No comments

Bya Ruth Andera

Kyaddaaki  kkooti eyimbudde omubaka we kawempe North Mubarak Munyagwa  nga ono abadde amaze sabiiti 2 namba mu komera , oluvanyuma lwokulemwa okusasula ebbanja lya Bukadde   100 million ezaali zimubanjibwa  John Baptist Maali.

wabula wabaddewo katemba ku kkooti nga bakyala ba Munywagwa buli omu y’ayagala okubeera ku mwanjo gwa bba.

Bano berangidde ebisongovu nga mukyala mukulu acoomera namba bbiri

Ono okuyimbulwa  okukiriza okusasula mpolampola  ebbanja lino nga era asoose kusasulako obukadde 15 era asuubirwa okuzimalayo nga 2nd/August 2017.

Bano  okukaanya basoose kwevumba kafubo n’omulamuzi Anglin Ssenoga  owa kooti enkulu nebakaanya ku byekibanja mpola

Kinajukirwa nti Munyagwa,  ono yakwatibwa nga 10th/April 2017 nagalirwa lwakulemwa kusasula nsimbi zino.

Obujulizi obuleetedwa bulaga nti mu mwaka gwa 2015 Maali  ono aliko etaka lyeyagula okuva ku munyagwa, era namuwa obukadde 100, kyokka okuva olwo , omubaka ono yagaanira kutaka lino, okutuusa lweyadukira mbuga zamateeka nga ayagala amateeka galamule.