Amawulire

Museveni akubye owa Japan akaama

Museveni akubye owa Japan akaama

Ali Mivule

August 29th, 2016

No comments

The President Yoweri Kaguta Museveni shakes hands with the Prime Minister of Japan Abey Chinzo shortly after their meeting at the on going Tokyo International Conference on African Development at Kenya International Conference Centre in Nairobi , Kenya on Sunday 28th August 2016.

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni asabye gavumenti ya Japan okusobozesa Uganda okuloba mu katale kayo n’okwongera okusiga ensimbi mu Africa.

Museveni bino abyogeredde mu lukungaana lw’abaddemu ne ssabaminisita wa Japan Chinzo Abe mu ggwanga lya Kenya.

Museveni agamba nti Uganda ne Japan bakolaganye  mu bintu ebyenjawulo nga Uganda egula ebikozesebwa okuva Mu Japan.

Museveni era asabye Japan okwagazisa abajapan okuggya kuno nga abalamabuzi basobole okuwagira ebyenfuna bya Uganda.

Mu kumwanukula ssabaminisita wa Japan  Chinzo Abe ategezezza nga Japan bw’egenda okwongera okuyamba Uganda nga era baakubawa obukadde bwa doola 116 okwongera okuzimba Kampala n’emiriraano.