Amawulire

Nambooze Tuviire mu kibiina -Mao

Ali Mivule

April 25th, 2017

No comments

Bya Damali Mukyaye

Ab’ekibiina kya DP basabye amyuka ssentebewaabwe mu Buganda Betty Nambooze n’ekiwayi kye okugondera amateeka g’ekibiina oba ssikyo banonye ekibanja ewalala.

 Nga ayogerako eri bannamawulire olwaleero ku kitebe ky’ekibiina ku City  House, ssenkaggale w’ekibiina kino Nobert Mao ategezezza nga Nambooze ne banne baabadde baagala kukuba lukungaana olumenya amateeka olutakkiriziddwa kibiina kale nga ssibakukkiriza bino nga awatali bukulembeze.

 Mao alumiriza Nambooze  ne banne okukulembeze obusosoze mu mawanga ekivuddeko ekibiina okudda emabega era n’alabula nti bwebaba nga bawulire DP tebawa mirembe bagende mu kibiina ekirala gyebanakolera obwakiwagi awatali abagambako.

 Nambooze nebanne ku ssande balameseddwa okukuba olukungaana mu bitundu bye Masaka nga era okuva olwo Nambooze baamugobye mu kibiia okumala emyezi 3 lwakujeemera biragiro byakibiina.