Amawulire
Namwandu wa Amin Sarah Amin afudde
Eyali muk’omukulembeze w’eggwanga Idi Amin nga ye Sarah Amin afudde.
Ono afiiridde mu kibuga London ekya Bungereza ng’aweza emyaka 60.
Mutabani wa Amin Jaffer Amin agambye nti batandise enteekateeka ez’okuza omulambo.
Ono agambye nti kitaawe yali ayagala nnyo omukyala ono era nga tebawuukana okutuuka lweyafa
Abaaliwo bagamba nti omukyala ono eyali omuzanyi mu bandi y’amaggye Amin yamusiima bali mu kumusanyusaamu era n’amukuba embaga makeke yadde yali muka musajja