Amawulire

Nkyali Mulamu-Kayihura

Ali Mivule

June 19th, 2017

No comments

Bya Fredrick Musisi

Kyaddaaki ssabapoliisi w’eggwanga Gen Kale Kayihura avuddemu omwasi ku mbeera y’obulamu bwe oluvanyuma lwabannayuganda okutandika okwebuuza nti ssabapoliisi aliwa nga abalala bagamba nti oli mulwadde muyi alinda ssaawa.

kati Kayuhura yayogeddeko n’olupapuoa lwaffe olwa daily Monitor mu kibuga kya Turkey ekikulu ekya Ankara n’ategeeza nti gyali amoga wabula musanyufu nti bannayuganda bamufaako okutuuka okumwebuuza nga ababuze ku maaso.

Oluvuuvumo ku mbeera y’ebyobulamu bya Kayihura lwatandika oluvanyuma lw’obutalabikako nga pulezidenti Museveni ayogerako eri eggwanga ku mbeera y’ebyenfuna sso nga nemukusoma embalirira y’eggwanga teyalabikako.

Kayihura yasemba okulabikako mu lujudde nga 31 May mu lukiiko lw’ebyokwerinda olwali mu maka g’omukulembeze w’eggwanga.