Amawulire

NRM enywezezza natti- abesimbawo bakusasula

Ali Mivule

September 30th, 2014

No comments

 

lumumba kasule

Ababaka ba palamenti okuva mu NRM bagaala enkyukakyuka mu mateeka agabafuga.

Kati okwesimbawo ku bwapulezidenti ku tiketi y’ekibiina olina okusasula obukadde 20 mu ggwanika ly’ekibiina.

Bino by’ebimu ebyatuukiddwako ab’akabondo ka NRM akawungezi akayise.

Kati agenda okwesimbawo ku bwa memba wa palamenti olina kusasula obukadde 3 nga ensimbi zino zigendereddwamu kusakira kibiina ssente zikiyimirizawo.

Nampala w’ekibiina kino Justine Lumumba agamba nti  ayagala ekifo kya ssabawandiisi n’obuwanika, teri kwesimbawo ku kifo kyabufuzi kirala mu ggwanga.

Ono era annyonyodde lwaki eyabadde ssbaminisita Amama Mbabazi teyalabiseeko Entebbe nga ababaka b’akabondo batudde.