Amawulire

Obubaka bwa Ssabasajja ku lunnaky lwa’baami

Ivan Ssenabulya

November 22nd, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Nga tukuza olunaku lwabaami munsi yonna omwaka guno, kirunji twefumitirize ku bitukiddwako nebyo ebitanaba mu kulwanyisa obulwadde bwamukenya.

Buno bwebubaka bwa Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11 bwawerezza bana-Uganda, mwajukiriza abasajja nabalenzi nti teri ddagala ligema wadde okuwonya silimu, nomulanga okwekuuma.

Omutanda ategezezza nti kyekiseera okuwuliriza abasawo byebatugamba, okubissa mu nkola nga yengeri yokka gyetunawangula nawokeera.

Mu bubaka bwebumu ategezezza nga bwewabaddewo okusomesa abantu kungeri yokwewalamu obulwadde buno nga beyambisa emikutu gyebyempuriziganya nayenga kirabika abamu bakyesuliddeyo ogwa nnagamba olwensonga nti waliwo eddagala eriweweeza ku kauwka, abamu kwekusalalwo okwejabaata.

Ekitiongole kya UNAIDS nga kikolera wamu ne Maama Club Uganda ebivudde mu kunonyereza ku kirwadde kino biraga nti kyeyongera bweyongezi nga kankano ku 10.6% mu Buganda ne Busonga, Omutanda kyagambye nti kyenyamizza.

Buganda yakukuzza olunaku lwabaami nga 28 omwezi guno.