Amawulire

Obubaka Obukulembeddemu Eid

Ivan Ssenabulya

June 25th, 2017

No comments

Bya Ivan Ssenabulya ne Shamim Nateebwa

Olwaleero Eid, ngabyisiraamu batandise okweyiwa ku mizikiti egyenjawulo, oluvanyuma lwokufundikira ekisiibo mu mwezi omutukuzu.

Eid yalangiriddwa akawungeezi akayise oluvanyuma lwomwezi okuboneka.

Kati okusinziira ku ntekateeka efulumye okuva ku kitebbe kyobuyisiraamu mu gwanga ku kasozi Kampala Mukadde, kusaala Eid ku muzikiti omukulu ku Old Kampala kugenda kutandika ssaawa 3 ezokumakya.

Omwogezi wekitebbe kyobuyiraamu mu gwanga ekya Uganda Muslim Supreme Council, Hajj Nsereko Mutumba ategezezza nti okusinzira kugenda kubeera mu nnimi ezenjwulo okuli olu-Swahili, Oluganda Nolungereza.

 

Mungeri yeemu buli kimu kijjiddwako engalo okusaala Eid wali ku muzikiti ku kasozi e Kibuli.

Supreme Mufti wa Uganda, sheik Siliman Kasule Ndirangwa ayozeyozza abayisiraamu oumalako omwezi omutukuvu nekisiibo.

Bweyabadde awa obubaka bwe obwa Eid, Supreme Mufti yategezezza nti bbo okusaala kwakujibwako akawuuwo ku ssaawa 4 ezokunkya.

Ategezezza nti emmotok tezigenda kukirizibwa Ku-parkinga ku muzikiti nga zakukumibwa awo ku ddwaliro ssi munda mu muzikiti.

Mu bubaka bwe yasabye abayisraamu okusigala nga bakola obulungi nga bwegubadde mu mwezi omutukuvu bewale okwetabaata kubanga bandiviramu awo ekisiibo nekibafa ttogge.

 

Mungeri yeemu, Imam womuzikiti gwa palamenti Omubaka wa Kawempe North Latif Ssebagala mu bubaka bwe eri abayisraamu, abakubiriza okugenda mu maaso nebikolwa ebirungi.

Ategezezza nti omwezi omutukuvu nekisiibo libadde ttendekero, kalenga byebayize balina okubitwala mu maaso.

 

Yye Lord mayor wa Kampala Eriasa Lukwago asabye abayisraamu okukozesa olunnaku luno okusabira egwanga libukalemu emirembe.

Ono ayogedde ku kitulugunya bantu basibe nokulwanagana okutakya mu bitundu bye gwanga ebyenajwulo.