Amawulire

Obudduuka bwa zzaala bwakuggalwa

Ivan Ssenabulya

February 22nd, 2018

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Olukiiko olutwala emizannyo gya zzaala nokutebereza olwa National Gaming Board lulangiridde okuggala ebibanda nobudduuka bwa zzaala okwetoola egwanga.

Bwabadde ayogera ne banamwulire ku Media Center, akulira olukiiko luno Edgar Agaba agambye nti waliwo omujjuzo ogususse, nga bann-Uganda batwala obudde bungi mu kutebereza anawangula natawangule, ekiviriddeko amaka mangi okusasika, busniness okufa nabamu okubagoba ku mirimu.

Ategezeza nti mu kiseera kino mu Uganda mulimu amadduuka ga betting 1,200 nga waliwo obwetaavu okugakendeeza.

Bagala buli division ya Kampala okuba nobudduuka 20 bwokka, byebibanda oba obuduuka 100 mu Kampala awamu, okuva ku  400 obuliwo mu kiseera kino.