Amawulire

Ogwa Besigye tegugenze mu maaso

Ali Mivule

April 23rd, 2014

No comments

Besigye votes

Okuwulira omusango ogwawaabwa eyali akulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye tekugenze mu maaso.

Omulamuzi abadde alina okugukolako, Elizabeth Musoke talabiseeko

Besigye yawaaba ng’;ayagala aba UBC bamuddize ensimbi zeyabasasula okumukubira obulango nga yesimbyeewo mu mwaka gwa 2011 nga kino kyabalema

Ayagala bamusasule obukadde bwe 21 zeyabawa nga kuliko n’amagoba

Aba UBC beegana okukwata ssente za Besigye nga bagamba nti bbo bakolagana na kkampuni ya Big Idea eyali ekolera omukago gwa IPC