Amawulire

Okunonyereza ku nfa ya Kasiwukira- abapoliisi bali mu kattu

Ali Mivule

October 20th, 2014

No comments

Kasiwukira burried

Abapoliisi abaasooka okutuuka mu kifo awaali akabenje omwafiira naggagga Kasiwuukira bakunonyerezevwaako

Ekiwayi ekikwasisa abasirikale empisa kimaze okulagirwa okunonyereza lwaki abasirikale bano bakkiriza abantu okusalimbira mu kifo ekyaali kibaddemu akabenje

Kasiwuukira yakoonwa mmotoka eyamuttirawo  ku lw’okutaano oluwedde bweyali akola dduyiro okumpi n’amaka ge e Muyenga

Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti musango omupoliisi yenna okutuuka awabadde akabenje n’ataggalawo era nga bakola na nsobi okutambuliza omulambo ku kabangali.

Anyonyodde nti ba ofiisa bano battattana ekifananyi kya poliisi kyokka nga tebajja kugendera awo

Yye omugenzi Kasiwuukira wetwogerera ng’amaze okugalamizibwa ku biggya ba jjajja be e Nanziga  Mpigi ku luguudo oludda e Masaka.

Okuziika kuno kwetabiddwaako abanene abatali bamu okuli omuduumizi w’amaggye Gen katumba Wamala, Amelia Kyambadde, omulabirizi eyawummula Samuel Balagadde Ssekadde, Supreme Mufti Zubairi Kayongo n’abalala

Mwogezi ku mwogezi, bonna basabye nti wabeewo okunonyereza ekyasse omugenzi ekituufu kubanga nabo basobedde.

Yye akulira ekibiina kya Baggagga kya Kwagalana Godfrey Kirumira agambye nti enfa ya kasiwuukira tekwataganira ddala na kabenje koogerwako, kale nga ab’emikwano kko n’abenganda z’abagenzi balinze alipoota ya poliisi.

Omugenzi alese abaana musanvu ne bannamawandu babiri.