Amawulire

Olukiiko lwa Buganda kugenda kutuula leero.

Ivan Ssenabulya

October 16th, 2017

No comments

 

Bya Shamim Nanteebwa

Olunaku olwaleero olukiiko lwa Buganda luganda kudamu okutuula okuteesa  ku nsonga ezizimba egwanga- Buganda.

Kinajjukirwa nti olukiiko olwasembayo okutuula lwaliwo mu mwezi ogw’omunaana n’eruteesa  ku byayogerwa ssabasajja kabaka nga aggulawo olukiiko lwa Buganda olw’omulundi ogwa 25.

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II mu bubakabwe, yasaba abakiise b’olukiiko okulondoola emirimu egikolebwa mu bitongole by’obwakabaka eby’enjawulo, era nakubirizza abantu okufaayo ennyo okulwanyisa obulwadde bwa mukenenya.

Olukiiko lwa leero Kati lusubirwa okutandika ku saaawa nnya ez’okukamya, era nga katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga wakutegeeza obuganda embeera omutanda gyalimu, kko  n’entekateeka endala.