Amawulire

Olunnaku Olusooka mu Kusiiba

Ivan Ssenabulya

May 27th, 2017

No comments

Bya Ali Mivule ne Shamim Nateebwa

Enkumi nekumi zabayisiraamu olwetoloola ensi olwaleero batandise ekissibo mu mwezi omutukuvu ogwa Ramadhan.

Kati kisiibo kino kuba kwerumya obutalya nkunywa nga nabafumbo tebetaba mu bikolwa bya mukwano okumala ennaku 30 okwewaayo eri omutonzi.

Mufti wa Uganda Sheikh Shaban Ramadhan Mubajje asabye abayisiraamu mu mwezi guno okweyisa mungeri eyobutukuvu, basobole okwefunir ku mpeera okuva eri Katonda.

Ategezezza nti omwezi omutukuvu wegujidde ngegwanga lya Uganda litubidde mu kusomozebwa okutagambibwa, okuli enjala, enguzi nebiralla wabulanga mulimu gwabayisiraamu okusabira egwanga mu kadde kano.

Kati bbo abakugu mu byobulamu balabudde nti mu kisisibo kino emibira gyolekedde okukyuka wakati mu kumanyiira embeera eyokwerumya obutalya nayenga kyandiokusa obulamu.

Abasawo baliko byebawabudde mu mbeera eno, eyokutandika ekisiibo.

Dr. Charles Kasozi, omusawo omukugu wali mu ddwaliro e Mulago ategezezza nti kyandibadde kirungi omusiibi okusooka okugenda mu ddwaliro nakeberebwa okulaba embeera yobulamu bwe.

Ate mungeri yeemu, abayisraamu bajjukiziddwa okusomanga ennyo Qorun okusobola okutambulira mu mateeka ge ddiini befunire empeera.

Akulira ebyemirimu mu kibiina kya Muslim Scholars’ Forum, Haji Muhammad Kisambira ajjukizza abayisraamu okwesamba byonna ebitali byabwa Katonda.

Asabye abazadde era okwagazisa abaana baabwe ediini.