Amawulire

Omukazi asibiddwa lwakulagajjalira mwana.

Ivan Ssenabulya

January 16th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah.

Mu kooti: Omufumbo  ow’emyaka  makumi  22  asimbiddwa  mu  mbuga  z’amateeka navunanwa  omusango  gw’okulagajalira  omwana  we  owa sabiiti ebiri zoka.

Nantambi Christine avunaniddwa mu kkooti ya City Hall mu maaso g’omulamuzi  we daala erisooka Patrick Talisuna omusango nagwegaana.

Oluvanyuma lw’okwegaana omusango  omulamuzi amusindise ku alimanda e Luzira  agira  y’ebakayo okutuusa  Januarya 25 nga police bwemaliriza ogwaayo ogw’okunonyereza.

Kigambibwa nti omukyala ono nga mutuuze we Kiwatule Nakawa division mu Kampala nga January 8th 2018 e Kiwatule ssawa nga bbiri ez’ekiro yaleka omwana wa sabiiti bbiri mu nyumba ng’amubise ebigoye mu maaso oluvanyuma lwa ttaata we okugaana okumuwa ssente zeyali asabye.