Amawulire

Omukazi bamugobye ku kyalo lwa bulogo

Ivan Ssenabulya

October 17th, 2017

No comments

Bya  Abubaker Kirunda

E Jinja waliwo omukazi wa myaka 56 agobedwa ku kyalo nga ono bamulanze kubeera mulogo.

Nabirye Mpoya  nga mutuuze we Kanyabutiti- yagobeddwa nga  ono kigambibwa nti aludde ngaloga abantu nebagwa eddalu.

Ono okugobwa asoose kusimbibwa mu kooti yekyalo ekubirizidwa ssentebe we gombolola ye Budondo, Ayoub Wabika , ngono asoose kumutaasa kubatuuze ababade baagala okumutta

Kati bano bonna bakaanzizza nti mukyala ono abaviire ku kyalo.