Amawulire
Omulabirizi wa North Kigezi afudde
Bya Benjamin Jumbe
Omulabirizi wa North Kigezi Rt. Rev. Benon Magezi, afudde.
Ono okufa kwe kulangiriddwa Ssabalabirizi we’kanisa ya Uganda Dr. Stephen Samuel Kazimba ngagambye nti yafudde oluvanyuma lwekimbe ekyamanagu ekyamugwiridde.
Bishop Magezi yali yatuzibwa nga 8 January 2017 ku Emmanuel Cathedral, Kinyasano mu disitulikiti ye Rukungiri era gyebuvuddeko abadde yakatongoza entekateka yokusonda ssente okugaziya lutikko.
Omulabirizi alaese abaana 5 n’omukyala omu.
Nga tanalondebwa ngomulabirizi, yawerezaako ngomuwanika we’ssaza lya North Kigezi.
Yali yatuzibwa ngomu-deacon mu Decemba wa 1991.