Amawulire

Omusaabaze bamugyemu amannyo lwabutasasula 3000

Ali Mivule

July 17th, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Kondakita akubye omusaabaze  n’amuwangulamu amanyo lwa 3000.

Kondakita wa takisi nnamba UAT 156B nga ye  Ibra Matovu okutabuka kiddiridde okutwala omusaabaze okuva e Luweero okutuuka e Kawanda kyokka bwe yamusabye ssente ze 3,000/- ze yatambulidde n’adda mu kwebuzaabuza..

Olwafulumye mu takisi n’ateekako kakokola tondeka nnyuma kyokka ga tazirina,Matovu namusimbako ekikumi n’amukwatira e Nakyesanja.

Yamusabye engatto n’essimu n’abigaanira ekyaddiridde kukubagana nguumi Omusaabaze agenze okuva wansi nga bamuyulizza empale n’engatto ne bazimuggyamu ssaako n’essimu ne bagitwala.

Matovu agambye nti yatandise okusaba abasaabaze ssente nga bali Matugga ono ng’awoza nti ziri ku Mobile Money ate bwe yatuuse waaviiramu yadduse misinde.