Amawulire

Omusango gwaba DP teguigenze mu maaso olwakediimo kaba puliida

Ivan Ssenabulya

October 12th, 2017

No comments

Bya Ruth Anderah

Okuwulira omusango gwabana DP babiri abavunanibwa okukungaana mungeri emenya amateeka, nga bawakanya okujja ekkomo ku myka agyomukulembez ewe gwanga, tekugenze mu maaso, mu maaso gomulamuzi we ddaala erisooka erya Buganda Road Joan Aciro.

Hakeem Kiiza ne Moses Mboowa amanyiddwa nga Chief Mboowa, bebabadde abakulabikako mu maaso gomulamuzi.

Omusango gwabwe gwongezeddwayo, oluvanyuma lwakediimo kabawaabi ba gavumenti akakyegenda mu maaso.

Kitegzeddwa nti omusango gwakuddamu nga November 16th lwegunasomebwa.
Mu musango guno, oludda oluwaabi lugamba nti ababairi bano nabalala abakyayigibwa nga August 20th 2017 ao ku City Square mu Kampala bano bwebaali batongoza ‘K’ogikwatako’ betaaba mu bikolwa ebimenya amateeka.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *