Amawulire

Omutanda Azeemu Okulabula ku Tteeka Lye Ttaka

Ivan Ssenabulya

August 14th, 2017

No comments

MENGO

Bya Shamim Nateebwa

Ssabasajja kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi 11 akangudde ku ddoboozi ku nsonga z’etteeka ly’etaka, government mweyagalira okwezza ettaka lyabantu mu buwaze nga tesoose n’akubaliyrira.

Bwabadde agulawo olukiiko lwa Buganda olw’omulundi ogwa 25, ssabasajja agambye  nti ensonga z’ettaka mu Buganda za nkizo nnyo, nga yenna ayagala okubaako kyakolera ku ttaka agwana okusooka okutuuka ku ntegeragerana ne nanyini lyo ssi kuwamba buwambi.

Mungeri yeemu Ssabasajja asabye abavubuka ba Buganda okwemanyiza enkola eyobwanakyewa, bwererze obwakabaka obutemalira era bave mu byanfunira wa?

Mu kusooka Ssabasajja  asoose kusiima, nabaako basajja be bawadde engabo namafumu nga bino byebirabo ebya wagulu wano mu Buganda.

Abasimiddwa kuliko Joseph Mulwanyamuli Ssemwogegere  eyaliko katikiro wa Buganda, Owek. Godefry kaaya Kavuma, omulangira Benon kimbugwe kajumba,  Owek. Omugenzi John Ssebaana Kizito, Omugenzi James Sseviiri, Omugenzi Rosalia Kyoteeka, nomugenzi Ivon Namaganda ngono ye mwana eyafiira mu nabbabmbula womuliro ogwakwata essomero lya Budo Junior Bweyali ngataasa banne.