Amawulire

Omutuuze atutte palamenti mu kooti

Ivan Ssenabulya

October 20th, 2017

No comments

Bya Ruth Anderah

Waliwo omutuuze atutte palamenti mu mbuga zamateeka, nawabira nomukubiriza wolukiiko lwe gwanga olukulu, Rebeeca Kadaga olwokumenya amateeka agagobererwa mu kukubiriza enkiiko.

Alex Waiswa Mufumbiro nga munnamateeka era amyuka akulira ebyamawulire mu kibiina kya DP ayagala kooti eyise ekiragiro, ekigaana okubonereza ababaka 25 abasindikibwa okuva mu lutulla nga 26th September ngagamba nti kyebakola baali bakuuma ssemateeka.

Waiswa era ayagala spiika ayimirizibwe obutateesa yadde okugenda mu maaso nebyo ebyayisibwa enkeera waalwo nga 27th September omubaka Rapheal Magyezi tbweyasindikibw amu luwummula okuleeta ebbago lyokujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga.

Ono agamba nti byonna ebyatukibwako byaliwo nga Nampala wabavuganya gavumenti Ssemujju Nganda taliiwo era ekyali kimenya amateeka.

Okuyita mu banameteeka be aba New Mark advocates, era annenya Kadaga okumala gakiriza abantu babulijjo obutayingira okulaba ebyali bigenda mu maaso kwolwo.

Ayagala aliyirirwe, kubanga yoomu ku bakosebwa bweyaganibwa okuyingira mu palamenti.